1 Kings 12:15-16

15 aKabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.

16 bAwo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti,

“Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi,
oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese?
Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri!
Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.”
Awo Abayisirayiri
Abayisirayiri aboogerebwako wano be b’omu bukiikakkono
ne beddirayo ewaabwe.
Copyright information for LugEEEE